Abatuuze be Bundimasoli mu tawuni ye Ntandi mu disitulikiti ye Bundibugyobaguddemu ekyekango oluvanyuma lw’omukazi okwokyera bba bba mu nyumba naye neyeyokya n’afa.
Omukazi ono ategerekese nga Nyangoma muka Mugisha Isembambu.
Baliraanwa bagamba nti abafumbo bano baludde nga balina obuttakanya nga era ekiro baasuze bayomba omukazi kwekuggalawo enyumba bba nga yebase enyumba n’agiteekera omuliro.
Omukazi ono olwalmaze okwokya bba n’agenda mu gumu ku muzigo oguli ku nyumba naye neyeyokya nga era bagezezzaako okumutaasa naye nga buteerere.
Omusajja naye agezezzaako okukuba enduulu bamutaase naye bazze kikeerezi era bagenze okumgyayo nga ayidde byakitalo.
Aduumira poliisi mu kitundu kino Martin Tukahebwa akakasizza kino n’ategeeza nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.