
Uganda kyaddaaki etegereganye ne Congo okuggulawo ensala ye Vura emaze ssabbiiti nnya nga nzigale
Mu Lukiiko olutudde mu kibuga Vura, enjuuyi zombie zitegereganye nti emirimu giddemu okutambula nga n’abantu abaali bakwata ebiso bajjiddwa ku nsalo poliisi n’eddamu okukuuma ekifo
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti ensalo eno ekaayanirwa kati yakuggulwawo akadde konna, emirimu giddemu okukwajja.
Enanga agambye nti ekibinja okuva e Congo nga kikulembeddwaamu omubaka wa Congo mu Uganda Christian katooto kikkiriziganyizza nti bakukolagana ne minisitule ya Uganda ekola ku by’ettaka kko n’ekitongole ekikola ku bantu abayingira mu ggwanga okulaba nti entalo teziddamu
Entalo zino zaava ku ba Congo abakyuusa emisanvu egiri mu nsalo nebagyongeza mu ttaka lya Uganda nga bagamba nti ettaka lyaabwe era bannayuganda abaali baswakidde bagezaako okubaddizza wabula poliisi n’ebiyingiramu nebakkakkana.
Okuva olwo bano nga basimbye emmaali yaabwe ku nsalo nga tebasobola kugisaza era ebyamaguzi bingi bivundidde ku ma motoka.