
Kino kiddiridde poliisi okumulabula obutatawaana kwebuuza ku bantu kubanga aba NRM tebamumanyi
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okudda ku butaka, Mbabazi agambye nti tajja kukkiriza kutiisibwatiisibwa nga wakugenda mu maaso n’enteekateeka ze
Ono agambye nti ssemateeka amugamba emikono gya bantu 100 nga tannaba kwesimbawo okuva mu buli disitulikiti nga gino tasobola kugifuna nga tatuukiridde bantu
Mbabazi era agambye nti gavumenti eno ejja kuba ekoze gwa nnaggomola okugezaako okutta abantu be olw’okwesowolayo nga bwebyayogeddwa mu mawulire
Muka Mbabazi yaddukidde dda ku poliisi ng’agamba nti agudde mu lukwe lw’abakuuma ddembe abagaala okutta omu ku baana be kale ng’ayagala poliisi enonyereze mangu ku nsonga eno.