Bya Magembe sabiiti.
Police e Mubende eriko fuso y’eNte gyekute nga eyolekera Kampala ekitakirizibwa oluvanyuma lw’okubalukawo kwekirwadde kya kalusu mu district okuli Mubende ,Kakumiro ne Ssembabule.
Atwala ebisolo mu district ye Mubende Dr Ssematimba Jammes agamba nti government yawa ekiragiro ekiyimiriza okutambuza ebisolo, amata ne nyama olwe kirwadde kya kalusu okulumba amagana bitundu bino nga kati bewala okusasanya ekirwadde kino.
Wabula abasubuzi abasangiddwa ne nte zino baguggumbudde police olw’okwata ente zabwe zebagamba nti bazijje mu district ye Kamwenge.