Bya Magembe Ssabiiti
Entekateeka z’okuza amatikira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 24 mu Ssazza lye Buwekula e Mubende omwezi guno zeyongedemu ebbugumu ngebiyitirirwa bitandise okuzimbibwa.
Ssentebe w’olukiiko olutesiteesi mu Ssazza lino Tonny Ssemmuli ngera ye mubaka wa munispaali eye Mubende ategezeezza ngomulimu gw’okumaliriza enyumba bwegugenda okujibwako engalo.
Omwami owe Ssaza Luwekula Imaculate Nantaayi asabye abantu ba ssabasajja okwongera okuwaayo ebikozesebwa omuli Emuli nensimbi enkalu okuzimba ebiyitirirwa okusobola okwaniriza obulungi omutanda.
Ssabasajja wakutuuka mu Ssazza lye erye Buwekula ngennaku zomwezi 30 omwezi guno aggalewo
olusisira lw’eby’obulamu nga 31 ngamatikira ge gyeganakwatibwa.