Skip to content Skip to footer

Eteeka erikwata ba kirereesi litwaliddwa mu kooti.

Bya Ruth Anderah.

Waliwo ekibiina ky’obwanakyeewa ekigenze mu kooti ya ssemateeka nga kyagala eteeka omuvunanirwa abantu abaakwatiddwa kubwa kirerese ligibwewewo.

Bano aba Human Rights Awareness and Promotion Forum nga bayita mu manateeka waabwe Ladislous Rwakafuuzi baagala kuwakanya akawayiro number 168 aka penal code Act.

Bano bagamba nti akawayiro kano abaavu  kabafuula bamenyi b’amateeka.

Rwakafuuzi agamba nti lino eteeka lyakolebwa kunyaga bantu nga babajamu ensimbi , kubanga mu musango guno police yekwata, yeewaaba, ate nga yenonyereza ku musango guno.

Leave a comment

0.0/5