Okunonyereza okukoleddwa ku ttaka ly’oku lusozi Elgon kulaga nti enjatika zikyatambula
Bano abasinze okutunuulira disitulikiti ye Buduuda agambye nti bakizudde nti ettaka, ensozi byonna byetoloola nga mu biseera bitono wajja kubaawo okubumbulukuka kw’ensozi
Mu march wa 2010, ettaka lyabumbulukuka abantu 350 nebabikkibwa ng’abasigalawo abasinga basengulwa okutwalibwa e Kiryandongo
Mu mwaka 2011, era ettaka lyaddamu okubumbulukuka neribikka abantu 28 era nga ne mu mwaka 2012 waliwo mukaaga abaafa