Bya Ali Mivule
Express FC ne KCCA baddamu okwatika akawungeezi kaleero mu mupiira gw’okuddingana mu semi finals eza Uganda Cup.
KCCA yawangula ogwasooka ku kisaawe kya Plillip Omondi e Lugogo 3-2.
Omutendesi wa Express Matia Lule agamba goolo 2 zebateeba zilaga nti kiraabu ye esobolera ddala okweyongerayo ku semi finals .
Ye owa KCCA Mike Mutebi agamba baakulumba okuviira ddala ku ddenge erisooka okulaba nga bayitawo.
Anawangula wakati w’ababiri banob wakukwatagana ne Paidha Black Angels abagyemu Sadolin ku semi finals.