Waliwo omusajja ow’emyaka 23 akubidwa mu mbuga z’amateeka nga alangibwa kubba Mbwa
Nickson Nimungu nga mutuze we Nakawa yaasimbidwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku City Hall Elias Kakooza omusango gw’okubba embwa naagwegana.
Oludda oluwabi lutegezezza kooti nti nga 8th August 2015 e Ntinda ,Nimungu yabba embwa ekika ekya German Shepherd nga ebalirirwamu emitwalo nkaaga.
Embwa egambibwa okubibwa yali ya Lutaya Kuteesa nga mutuuze we Ntinda.
Omukwate omulamuzi amusindiise Luzira okutuusa nga 15th September 2015