Bya Ruth Anderah.
Kooti ewulira emisango egy’obulyake ekulirwa omulamuzi Lawrence Gidudu leero lw’asubirwa okusalawo oba eyali minister w’ebyengudo Abraham Byandala nabalala mukaaga benyingira mukunyaga ensimbi ezaal ez’okudabiriza oluguudo olwa Mukono- Katosi road.
Kinajukirwa nti obujulizi obwaletebwa Kalisoliiso wa government Sarah Birungi bwalaga nti bano bebaafiriiza government ensimbi obuwumbi 24.7 nga zino zezaali ez’okukola oluguudo luno.
Kinajukirwa nti Byandaala ono omusango guno agulimu n’abalala okuli kimeze Ssebbugga, Joe Ssemugooma, Wilberforce Senjako ne Marvin Baryaruha nga bano baali bakozi ba kitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA, kko n’omusubuzi Apollo Senkeeto wamu n’omukozi wa Housing Finance Bank Isaac Mugote.