Bya Ruth Anderah.
KAMPALA: Kooti enkulu eriko omusajja gw’ekalize emyaka 15 nga omusango gwakuda ku mulalu n’amusobyako.
Omusajja Godfrey Ssemanda yakaligiddwa nga ono alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Alex Ajiji namukaliga oluvanyuma lwaye kenyini okukiriza omusango guno.
Obujulizi obuleeteddwa bulaga nti nga July 23rd 2015 wano mu Ndeeba ,Ssemanda yakakana ku mulalu ono namusobyako emirundi 3 nga teyeyagalidde.
Bwabadde amuwa ekibonerezo kino, omulamuzi agambye nti situgaanye yasobya ku mulalu,wabula asazeewo okumukaliga akole nga eky’okulabirako eri abalala abandyagadde okukole kyekimu.