
Gavumenti yakwongera okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bavubuka okwetoloola eggwanga.
Nga ayogerera ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abavubuka olugenda mu maaso wali e Katakwi, omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’ekikula ky’abantu Pius Bigirimaana ategezezza nga gavumenti kati bwetunulidde emirimu ne mu mawanga amalala.
Bigirimaana agamba baakizudde nga emirmu mingi bwegifa otula mu mawanga amalala kale nga batandise okuteekawo enteekateeka z’okuwerezayo abakozi mu mawanga ago.
Awadde eky’okulabirako eky’eggwanga lya Saudi Arabia gavumenti yakuno beyategeraganye nabo okutwalayo abakozi b’awaka.
Bigirimaana agamba bakulondoola bonna abatwalibwa ebweru w’eggwanga okwewala bannayuganda okukozesebwa nga obulogoyi.