
Ababaka ba palamenti tebasubira oluwummula mu kiseera kino.
Amyuka sipiika wa palamenti Jacob Oulanya agamba nti yadde nga yandiyagadde nyo palamenti okugenda mu luwummula olunaku lw’enkya emirimu gikyali mingi egyetagisa okumalirizibwa.
Oulanya asabye ababaka bonna obutebulankanya baggye mu bungi nga bwegwabadde olunaku lw’eggulo nga bayisa enongosereza mu ssemateeka basobole okuteesa ku nsonga ez’enjawulo baleme kusukka lwakubiri ssabbiiti ejja.
Ebimu ku biteeo ebigenda okukubaganyizibwako ebirowoozo kyekyokutondawo amasaza 11 amapya.