Poliisi ye Kyanamukaka mu disitulikiti ye Masaka eriko omusajja ow’emyaka lwakusobya ku muwalawe ow’emyaka 12.
Richard Ntale omutuuze ku kyalo Buyaga y’akwatiddwa oluvanyuma lw’abatuuze okutemya ku poliisi ku bigambibwa nti abaddenga agagambula muwalawe obumuli.
Ntale abadde asula mu nyumbaye yekka bukyanga mukyalawe Robinah Namugera anoba emyezi musanvu egiyise nga okukkakana ku muwalawe y’abadde akomyewo okuva e Masaka gy’abadde akola obwa yaya.
Baliraanwa bagamba mukyala w’omusajja ono ategerekese nga Namugerwa y’anoba olwa Ntale okumufuula akagoma buli bweyakomangawo nga atamidde.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza okukwatibwa kwa Ntale nga era ayolekedde okugulwako emisango gy’okutaganjula omwana gw’azaala n’obuliisa maanyi.