Skip to content Skip to footer

Kabuleta bamuyibudde

Bya Shamim Nateebwa

Eyali munnamawulire Joseph Kabuleta akakwungeezi akayise, akayimbuddwa ku kakalu ka poliisi, oluvanyuma lwokukwatibwa ku bigambibwa nti yanyiiza omukulembeze we gwanga.

Ono kigambibwa nti yayita ku mukutu gwe ogwa Facebook, nalategeeza nti waliwo olukwe presidenti Museveni okusikiza mutabani we Muhoozi Kainerugaba,ngomukulembeze w egwanga.

Kabuleta yakwatibwa ku Lowkutaano ku nkomerero ya wiiki ewedde, ngokuva olwo abadde agaliddwa nga yaggulwako emisango gyokukozesa obubi ebyuyma bi kalimagezi.

Nga tanaba kuyimbulwa munnamateeka we Daniel Wamemera, yabadde addukidde mu kooti nasaba kooti eyimbule omuntu we, kuba bamugalidde mu bumenyi bwamateeka okusukka mu ssaawa ezirambikiddwa mu mateeka, nga tebamutwala mu kooti.

Leave a comment

0.0/5