Bya Damalie Mukhaye
Olusoma lwabayizi olugya olutandika mu mwezi gwomunaana lulabika nga lilu mu lusuubo, abasomnesa bewera nti ssi bakukwata ku noni.
Abakozi abasomesa nabatali basomea balangirira akediimo kaabwe okuva nga1st August 2019 ssinga gavumenyti teetukirize obweyamu bwayo okubawa ensimbi zaabw e ezenyongereza.
Bwabadde ayogerako naffe ssentebbe wekibiina ekigtta abakozi abatali basomesa mu matendekero ga gavumenti aga waggulu, Jackson Betihama aweze nti gavumenti okulaliika kwabwe tekubalatiramu.
Ate abasomesa wansi wekibiina kyabwe, ekya Uganda national teachers association balindiridde omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni okubanukula, ku nsonga yemisaala gyabwe.
Bano mu mwezi gwokutaano bayimiriza akediimo kaabwe, oluvanyuma lwomukulembeze we gwnga okubasubiza okukola ku kwmeulugunya kwabwe ku nkomerero yomwezi ogwomusanvu.
Kati ssabwandiisi wa UNATU Filbert Baguma agambye nti amatu galinze essaawa yonna okuwulira presidenti Museveni kyanagamba.