Bya Samuel Ssebuliba.
Government etegeezedwa nga bwegwana okutandika okusoma alipoota zonna ezizze zikolebwa ku mivuyo gya Makerere , olwo etandike okuziteeka munkola mukifo ky’okulagira okunonyereza okulala.
Kinajjukirwa nti gyebuvudeko omukulembeze yalagira wakolebewo okunonyereza e makerere, era Rwendeire report n’ekolebwa, songa bino byagenda okubaawo nga Omaswa Report yakolebwa dda naye neterekebwa- buterekebwa.
Kati twogedeko ne Prof Francis Omaswa eyakola okunonyereza okwasooka nagamba nti ensonga ezikosa makerere tezaakyuka, kale nga government egwana kutandika okusoma alipoota zino nga bweteeke ebyayogerwako mu nkola, mukifo ky’okumala akadde n’ensimbi nga bakola okunonyereza okulala.