Ababaka ba palamenti balaze obwenyamivu olw’ebbeeyi y’amafuta ekalaamuse
Mu kadde kano amafuta gatuuse ku shs 3900 ku masundiro amanene nga Total ate ng’amasundiro amatonotono gatunda 3500 petulooli
Omubaka Micheal Mawanda agamba nti waliwo obwetaavu bwa gavumenti okuyingira mu nsonga zino mu bwangu ddala okutaasa bannayuganda.
Ono wabula agamba nti ne siringi okunaabuka kikosezza nga byonna byetaaga okukolako yadde n’amawanga amalala gakaaba