Bya ssebuliba samuel.
Amagye ge gwanga aga UPDF gakakasizza nga bwegalina eyaliko omuduumizi wa polisi Gen Kale kayihura , era nga kakano akuumirwa mu Baracks yamagye wano e Makindye.
Ekiwandiiko ekituwerezeddwa nga kiriko omukono gw’ayogerera amagye ge gwanga Brig. Richard Kalemire, kiraze nga kayihura bweyakimiddwa enyonyi yamagye okuva mu famuye e Kashagama Lyantonde okubaako byanyonyola.
Ono agambye nti mukaseera kano abakirizibwa bokka okulaba ku Gen beboluganda bokka kko nebanamateekabe.