Bya samuel ssebuliba.
Ssabapolisi wa Uganda Gen Kale Kayihura ategeezeza nga Police bwegenda okujjayo n’agomubuto eyigge abatemu nate abazeemu okutemula abantu mu maserengeta ga Uganda.
Mukaseera kano abantu 5 bebakattibwa , kko n’okulumya abalala 12 nga omu kubattidwa muserikale ey’awumula
Ebyalo ebyalumbiddwa kuliko Kiryasaaka ekisangibwa mu gombolola ye Kingo , Kisojjo, Kyabagoma ne Kyamabaale ebisangibwa mu gombolola ye Kibinge e Bukomansimbi.
Abattidwa kuliko Denis Ssebugwawo omuserikale eyawummula, songa abalala kuliko Jane Nantale, John Sseremba ne Gonzaga Kayemba , songa omulala nakakano tanamanyika manya.
Olunaku olw’egulo ssabapolice we gwanga Gen Kale Kayihura yatuuseko mukitundu eky’akoseddwa nagumya abatuuze.
