Bya Ali Mivule
Omuwala Carol Atuhirwe eyatawanyizibwa enyo ekirwadde kya kookolo bannayuganda nebatuuka n’okumusondera ensimbi ajanjabibwe afudde.
Omuwala ono amaze akabanga nga kookolo amuli bubi era nga bamukaliridde enfunda eziwerako naye bigaanye.
Okusinziira ku eyali munnamawulire Muhereeza Kyamutetera nga yeyakulemberamu kawefube w’okusonda ensimbi z’okujanjaba Carol ategezezza nti omuwala ono y’afiiridde mu ggwanga lya Buyindi gy’abadde ajanjabibwa.
Bbo abantu abenjawulo batandise okuweereza obubaka obukungubaka naddala ku mukutu gwa Twitter ne Facebook kwebaasinga okusondera ensimbi.