Bya Abubaker Kirunda
Gwebateberezza okuwamba omwana abatuuze batwalidde amateeka mu ngalo nebamukuba okutuuka okumutta.
Bino bibadde ku kyalo Bugodi mu gombolola ye Baitambogwe mu district ye Mayuge.
Omugenzi kidiridde okumulaba ngaliko omwana womutuuze ategerekeseko nga Maliki, ngamutwala.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga east James Mubi ategezeza nti omusajja ono gwebabadde batanategeera mannya ge nebimukwatako, afiridde mu ddwaliro lye Igang-Nakavule gyabadde atwaliddwa okujanjabibwa, oluvanyuma lwokumukuba ebitagambika.
Bino webijidde ngabantu bangi okwetoola egwanga emitima gyewanise olwekiamba nekitta abntu, ekigenze kiranda.