Bya Ivan Ssenabulya, Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga asabye abakulembeze b’ebitundu okuvaayo ne biragiro ebitaasa omwana ow’obuwala n’okumukuumira kussomero.
Kadaga agamba nti ebiragiro bino byetaagisa okuyamba ku mateeka agaliwo ku ddembe lya baana.
Bino byabadde mu bubaka bwe bweyatise omubaka wa Luuka South Steven Kisa mu kutongoza olusisira olwatumiddwa okumanyisa n’okuwagira eddembe lya baana ery’okusoma e Kitwe Kyambogo P/S eriei mu disitulikiti ye Luuka.
Okusinziira ku Elly Kasirye omukwanaganya w’ekibiina ki Foundation for Human Rights Initiative eyakulembeddemu enteekateeka eno kino kya kuyamba okukuumira abaana mu masomero n’okulwanyisa omuzze gw’okufumbiza abaana abatanetuuka.