Bya samuel ssebuliba
E kitongole ekya kalisoliiso kitegeezeza nga bwekigenda okukolagane ne banka ez’enjawulo butereevu okusobola okulondoola ensimbi ezitambuzibwa eziyinza okuba ez’obulabe eri egwanga.
Twogedeko n’akulira ekitongole kino Justice Irene Mulyagonja n’agamba nti babade bakolagana n’ekitongole ekya Financial intelligence authority okubega banka zino , wabula kaakano baagala kwetuukira bakolagane ne banka z’enyini okumanya okupanya ensimbi za government kko n’okuzitambuza mu bukyamu.
Ono agambye nti kati bategese okuteeka omukono ku ndagaano ne bank ez’enjawulo okusobola okutega ebitimba ebinaakwata bano.