Bya Juliet Nalwoga, Munnamaggye eyaganyuka Maj. Gen. Kasirye Ggwanga awadde govt amagezi okukozesa olunaku lwa bazira okubaako kyewa bannauganda abatadde amaanyi mu by’obulimi.
Minister akola kunsonga z’amaka g’omukulembeze w’eggwanga Esther Mbayo yategeeza nga museveni bweyalangirira nti wakuwa emidaali eri abantu 100 ku mikolo gya bazira b’omwka guno.
Nga ayogera ne ddembe fm Kasirye Ggwanga agambye nti ye siwakumala budde bwe kugenda ku mikolo gya bazira era nasaba abalimi batunulwemu.
Emikolo gyabubeera kasanje mu district ye wakiso wansi womulamwa ogugamba nti okujaguza abazira abalwanirira emirembe gyetunyumirwa kati.