Munnamaggye Brig Kasirye Ggwanga wakusengulwa
Poliisi egamba nti egenda kussa mu nkola ekiragiro kya kooti ekisengula ggwanga mu Uganda gy’abeeramu ng’eno elimu enkayaana
Enju eyogerwaako ekaayanirwa omukyala Christine Kakai agamba nti ettaka okuli enyumba eno yaligula okuva mu kkampuni ya Bao enterprises
Ne Kasirye ggwanga alumiriza nti alina ekyapa ekiraga nti ettaka yaligula ku ba Buganda land board.
WOmuduumuzi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti bafunye bbaluwa okuva eri ekitongole kya poliisi ekikola ku nsonga z’amateeka nga babalagira kusengula ggwnaga mu bwnagu ddala.