
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga akunze baminista ba ssabajja kabaka abakalondebwa okukola enyo okutuusa Buganda ku Ntikko.
SSabasajja yakola enkyukakyuka mu ba minisita be nga mu bakyusibwa kwekuli ne katikkiro namba bbiri nga kati ye wekitiibwa Twaha Kawaase.
Katikkiro agambye nti abakulu bano balondeddwa mu kaseera nga Buganda ebeetaga era balina okubeera omumuli mu nteekateeka ezitali zimu
Mu ngeri yeemu, Katikkiro akunze abaganda okutambuza obubaka bw’omutanda omuli okujjumbira okutaasa obutonde bw’ensi n’okubeera n’omugongo