Skip to content Skip to footer

Kayihura atabukidde abakulira polisi ye Bukomansimbi ne Lwengo.

Bya Samuel ssebuliba.

 

Ssaabaduumizi wa poliisi ye ggwanga Gen Kale Kayihura alagidde aduumira poliisi ya Bukomansimbi n’abasirikale be okukola sitetimenti ku butya abantu baatemuddwa nga kubbo mpaawo ategedde.

Ono okwogera bino  asinzidde mu kuziika omusirikale wa poliisi eyawummula Denis Ssebugwawo Lumala eyattiddwa ku Monday bakijambiya abatanategeerekeka n’agamba nti poliisi ya Bukomansimbi teyakola kimala kukuuma bantu.

Kayihura yeyamye okuwa abasirikale piki piki okusobola okuawuna buli kasonda ka Lwengo ne Bukomansimbi

Leave a comment

0.0/5