Skip to content Skip to footer

KCCA babaze entekateeka okulwanyisa obutyabaga

Bya Damalie Mukhaye

Ekitongole kya KCCA kitegeezza nga bwekimaze okubagga entekateeka egenda okuyitwamu okutangira ebigwa tebiraze mu kampala, nadala amataba.

Bwabadde ayogerera mu lukiko lwabakwatibwako ensonga, akulira emirimu gyekikugu mu Kampala Jenipher Musisi agambye nti  ebigwa tebiraze ng’amataba, okugwa kwebizimbe, omuliro, mutenza gulu n’ebirara biyuugumizza Kampala, wabulanga mpaawo ngeri yonna gyebiyinza kutangiramu.

Ono agamba nti mu banga ettono, eriyise abantu 3 bebakafiira mu myala gya Kampala, nga kekadde ekibuga okuba nengeri eyokwetangiramu.

Ono agambye nti batandise nakulamba bitundu omusinga okubeera emitawana obutyabaga buno, nga Kawempe, Katanga ne  Bwaise, ngeno wewasibuka endwadde, obuzzi bwemisango nebirara.

Leave a comment

0.0/5