Bya Damali Mukhaye
Minisita wa kampala Betty Kamya akakasizza ab’ekitongole kya KCCA nga eky’okuteeka kamera zokunguudo bwekitajja kukosa mbalirira yaabwe .
Kamya okuvaayo bwati kiddiridde loodi meeya Erias Lukwago okumuwandiikiria nga yemulugunya nti kinasoboka kitya okuteeka kamera zino ku nguudo nga embalirira yaabwe yasalibwa okuva ku buwumbi 656 okudda ku 3014.
Agamba enteekateeka zonna zitambula bulungi nga era bakolagana bulungi ne ofiisi ya pulezidenti ne poliisi nga era ensimbi zino ssizakuva mu KCCA wabula zakwewolebwa oba okuva mu mbalirira yenyonngereza.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalagira kamera ziteekebwe ku nguudo ez’enjawulo oluvanyuma lw’okutibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi Andrew Kaweesi.
