Bya Malik Fahad
Poliisi ye Mukoko mu disitulikiti ye Kalungu eriko yaaya gw’ekutte ku bigambibwa nti y’abbye omwana.
Hasifa Nassiwa omutuuze we Mukono y’akwatiddwa nti y’abbye omwana wa Shamimu Nabirye omutuuze we Kawempe gy’abadde akolera obwayaaya.
Okunonyereza okusoose kulaze nga Nassiwa bweyalimba bba Sunday Mukasa omuvuzi wa bodaboda omwana naye abadde amumubanja entakera kwekusalawo okubba owa mukamawe.
avunanyizibwa ku nsonga z’amaka n’abaana ku poliisi ye Lukaya Immaculate Nasimbwa ategezezza nga bwebaategezeddwa banaabwe okuva e Kamapala nti Nassiwa y’abadde abbye omwana wamukamawe.
Agamba olwabuuzizza Nassiwa omwana gweyabadde naye gyeyabadde amuggye nga amatama ntengo poliisi kwekumukwata nemuggalira.
Nasimbwa agamba Nassiwa wakugulwako gwakubba mwana nga okunonyereza kuwedde.