Skip to content Skip to footer

KCCA eyagazaaki amasomero g’eddiini- DP

Schs in kla

Ekibiina kya DP kitadde ku ninga kitongole kya  KCCA kyenyonyoleko lwaki  bakyalemedde  ebyapa by’amasomero gonna agali ku musingi gw’ediini gebaagala okukulakulanya.

KCCA yawandikira amasomero gano gonna nga egasaba ebyapa byaago nga tebanatandika ku nteekateeka z’okukulakulanya amasomero gano.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, ssabawandiisi w’ekibiina kino  Matthias Nsubuga ategezezza nga KCCA bwekola kino okwagala okwezza amasomero gano.

Agamba singa kino tekinyonyolwa bulungi, bbo betegefu okukwatagana nebananyini masomero gano okutwala ensonga zino mu palamenti.

Wabula gyebuvuddeko amyuka omwogezi wa KCCA Robert  Kalumba yategeeza nga bwekiri ekizibu KCCA okuteeka ensimbi mu ssomero lyebatamanyi buvo bwaalyo.

Leave a comment

0.0/5