Bya Sam Ssebuliba
Olukiiko oludukanya ekibuga ekikulu olwa KCCA lusazeewo okuyimiriza okumenya ebizimbe ebitali ku plan mu Kampala, okutuusa ngokunonyereza kukoleddwa.
Okusalawo kukoleddwa mu lukiiko lwaba-kansala olutudde olwaleero, nga wano kansala we Rubaga Abubaker Kawalya wasinzidde nagamba nti engeri kino gyekikolebwamu eriko akabuuza, nga kigwana kigire nga kiyimirizibwa.
Ono agamba nti abantu nkuyanja mu kaseera kano basula bweru olwa KCCA okumenya amayumba mwebabade basula, ngensonga eno egwana kukwata mpola, ssi kupapa nga KCCA bwekola.
Kati wano amyuka executive director wa Kampala Samuel Serunkuuma, agambye nti bagenda kugira nga bayimiriza mu ntekateeka eno okumala sabiiti 2 nga bwebakolagana nabakola ku byamateeka nokutegekera ekibuga.
Yye lord mayor wa Kampala Erias Lukwago bwamubuziza lwaki nakakano wakyaliwo ebizimbe ebikyameruka, agambye nti abamu ku bagaga bomu Kampala balina emputtu, nebwebabayimiriza basigala bazimba.