Bya Ben Jumbe.
Omumyuka wa sipiika wa palamenti Jacob Oulanya asabye nti waberewo enkyukyuka ezikolebwa mu ngeri government gy’ekwatamu ensonga y’okukendeeza obungi bw’abantu
Bwabadde atongoze ebikujuko ebinakulembera olunaku lw’obungi bwabantu wano mu kampala, sipiika Oulanya agambye nti omulaka tegugwana kubeera kungeri yakukendeeze misinde abantu kwebazaalira, wabula engeri y’okusobozesaamu abavubuka okukola okusalawo okwabwe nga beetengeredde.
Ono agamba nti obungi bw’abantu guyinza obutaba mutawana, kale nga uganda kyeyeetaga okukola kwekulaba butya abaana abali wansi w’emyaka 15 gyebayinza okugasaamu egwanga.
