Ba memba b’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance ssibakuzira kalulu ka 2016.
Mu lukungaana lwabannamawulire lwebatuzizza olwaleero, bano bategeezezza nti bino byonna bigendereddwaamu kubanyigiriza bekyaaye bazire okulonda kyokka nga tebajja kukikola
Bano era balangiridde nti bavudde mu mukago ogugatta ebibiina byonna ogwa IPOD kubanga tebalina kyebagufunyeemu
Akulira okutekeerateekera omukago guno, Asuman Basalirwa agambye nti bamaze emyaka etaano nga bateese ku nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda kyokka nga kyewunyisa nti teri kivuddeyo.
Basalirwa wabula agamba nti bakukola kyonna ekisoboka okulaba nti okulonda kubaawo ate nga kutuukirivu.
Ab’omukago era balangiridde nga bwebakyagezaako okutabaganya loodimeeya Erias Lukwago ne DP okulaba nti bawandiisibwa ng’ekibiina kino.
SSempebwa agamba nti wabula baaniriza buli kibinja kyonna n’ebibiina ebikkiririza mu nkyukakyuuka