Ekitongole ekya KCCA kitegeezeza nga bwekiyinza okufiirwa akatale ka USAFI nga kino kidiridde gavumenti okulemelerwa okubongera ensimbi okusobola okumalayo ebbanja ely’obuwumbi 34 ezasigala ku nsimbi ezaagula akatale kano
omwaka oguwedde KCCA yagula akatale kano okuva kunyiniko kubuwumbi 50 nesasaulako 26 , bwetyo nesigala nga ebanjibwa 34 nabuli kati obukyabuze.
Kati bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka paraliment akakola ku nsonga zobwa president , Director akola ku byokukulakulanya ebitundu Harriet Mudondo agambye nti ekibatiisiza kwekuba nti mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja mpaawo kasimbi kabaweeredwa
Ono agamba nti KCCA ebadde nentegeka ezokudamu okuzimba akatale kano, wabula byona irabika nga bifudde, kubanga ebanja libalemye