Skip to content Skip to footer

Kenya etadde ebyamaguzi bya Uganda

Good at Mombasa boarder

Kenya kyaddaaki epondose n’eyimbula eby’amaguzi bya Uganda byeyali yawambira ku nsalo.

Abasuubuzi bonna abalina emmaali yaabwe ku mwaalo gwe Mombasa basabiddwa okugenda okugikima

Omwogezi w’abasuubuzi mu kibuga Issa Sekitto agamba nti ekitongole ekiwooza ekya Kenya kikwataganye n’abakola ku mwaalo nebakkiriza bannayuganda okukima ebintu byaabwe

Bino bizze ng’abasuubuzi bakalangirira nsalessale wa nnaku 14 eri aba Kenya okuta emmaali yaabwe oba ssi kkyo bakukyuusa omwaalo gyebabiyisa okudda mu Daresalam ekya Tanzania

Bano era okuboggola na pulezidenti Museveni yakalabula Kenya ku nsonga yeemu

Leave a comment

0.0/5