Bya Daily Monitor
Waliwo omukazi, ategerekese nga Justine Nakamate avuddeyo okwagala okugobaganya akulembera ekibiina kya NUP era eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga, ku ttaka.
Robert Kyagulanyi nabanatu abalala 2000, bebolekedde okusobwa, olwenkayana ku ttaka kwebali e Magere, mu Wakiso.
Nakamate yateeka envumbo ku ttaka lino, ngagamba nti waliwo Damalie Kayondo agamba nti alirinako obwannayini.
Ono ettaka yalifuna okuva ku bazadde be nabo abalisikira okuva ku jajja we Isaaka Kasana.
Wabula Nakamatte agamba nti Damalie Kayondo ne jajja we, ettaka lino balibba ku bazadde be mu bukyamu.
Okuyita mu bannamateeka be, aba Kajeke, Maguru and co advocates, Nakamate ku nnaku ezenjawulo mu June wa 2020 yawawabira abasenze 640 bali ku ttaka lino olwokuryesenzaako mu bukyamu, ngabaddenga ayagala kooti eragire baliveeko.
Nakamate era ayagala kooti esazeemu ebyapa byonna ebyafulumira ku ttaka lino kubanga byafuluma mu bukyamu.
Kati ebisinga ku mboozi eno biri mu Daily Monitor wolwaleero, egudde amakerenda.