Skip to content Skip to footer

NRM Manifesto Week etandise

Bya Benjamin Jumbe

NRM Manifesto Week egenda kutandika amakya ga leero, nga muno abakulu okuva mu minisitule nebitongoile bya gavumenti ebyenjawulo balabikako okunyonyola ebyo ebikoleddwa, mu kugerageranya nebyo gavumenti byeyasubiz bweyali esaba akalulu.

Okusinziira ku ntekateeka, eyafulumizddwa wofiisi ya Ssabaminisita we’gwanga, aba minisitule yobutebenkevu, nensonga zomunda mu gwanga naba minisitule yebyokwerinda bye gwanga bebagenda okutandika olwaleero nga balaga ebikoleddwa.

Oluvanyuma naba minisitule yebyobusubuzi, neyebyobulambuzi baakujja nabo okulaga ebikoleddwa.

Okusinziira ku Ssabaminisita we’gwanga Dr. Ruhakana Rugunda, gavumenti ya NRM ekoze ebyo byeyasubiza mu manifesto 95% mu kisanja kino.

Ebimu ku bitukiddwako byebenyumirizaamu kuliko; okuzukusa kamuni ye’gwanga eyennyonyi eya Uganda Airlines, okwongera ku bungi bwamasanyalaze namazzi nemirimu emirala.

Mungeri yeemu, gavumenti egamba nti yewaddeyo okuzza emirimu gyebyobulambuzi engulu.

Ebyobulambuzi gyegimu ku mirimu egyakosebwa ennyo olwa ssenyiga omukambwe, COVID-19 ngensimbi engwira ezaali ziva mu byobulambuzi tezikayjja nga bwezajaganga.

Ssabaminisita we’gwanga Dr. Ruhakana Rugunda yakoze obweyamu buno kulwa gavumenti nti baakukola kyonna ekisoboka, okutereeza ebyobulambuzi emirimu giddemu okutojjera.

Bino byonna Dr Rugunda yabyogeredde mu kutongoza Manifesto Week eya NRM.

Leave a comment

0.0/5