Abasuubuzi ba Kaciita bawakanyizza ebigambibw anti loodimeeya yeeyabapikamu omuliro obutasasula misolo.
Ng’alabiseeko mu kakiiko aakanonyereza ku kwemulugunya kw aba kansala 17, Omwogezi w’abasuubuzi Issa Sekitto agambye nti bagaana okusasula emisolo kubana gyaali mikyaamu sso ssi nti kubanga babalagira
Ssekitto agambye nti basisinkana ng’abasuubuzi nebateesa obutasasula misolo kubanga gyaali gibanyunyunta
Yye akulira ba dereeva ne ba condakita, Mustafa Mayambala naye alabiseeko mu kakiiko kano naye n’asambajja ebigambibw anti loodimeeya yeeyabagamba obutasasula misolo