Bya Joseph Kiggundu and James Kabengwa
Abakozi ba gavumenti 6 bebakwatiddwa abebyokwerinda ku kitebbe kya district ye Wakiso, abakungu mu kakiiko akalwanyisa enguzi mu maka gobwa presidenti bwebazinzeeko wofiisi emisana ga leero.
Bano ababdde bakulembeddwamu, akulira akakiiko kano akakatondebwawo Lt. Col Edith Nakalema, tekinakaksibwa lwaki bano babakutte.
Okusinziira ku banaffe aba Daily Monitor, abantu 6 bebataddeko obunyogoga bonna bakozi mu wofiisi yebye ttaka e Wakiso.
Munamwulire womukulembeze we gwanga Don Wanyama, nga yoomu ku babadde e Wakiso ne Lt Col Nakalema atubuliidde nti ebyokwerinda bikyanwezeddwa.
President Museveni yakakatondawo wiiki eyo ewedde.