Abamu ku bakulembeze ba disitulikiti banenyeza gavumenti olw’okutondawo amasaza amalala kyoka ng’ensimbi ezisindikibwa disitulikiti tezeyongera.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesige wiiki eno yategeezezza palamenti nga gavumenti bw’emalirizza enteekateeka z’okutunda wo amasaza amalala 39.
Ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli, Salaam Musumba agambye nti wadde ng’amasaza gano tegeetaaga nsimbi okuva mu disitulikiti naye gaba geetaga ensimbi okuva ku zi disitulikiti.
Musumba agambye nti n’agamu ku masaza agatondeddwaawo tegalina bungi by’abantu bumala wamu n’eby’obugagga okusobola okweyimirizaawo.
Ono asabye gavumenti okusooka nga okwebuuza ku bakulembeze ba gavumenti z’ebitundu nga tennaba kusala ku nsonga nga zino.