Skip to content Skip to footer

Afande Kaweesi yewaanye okulemesa Mbabazi

Munnamateeka Abdallah Kiwanuka atiisatiisiizza okutwala  omuduumizi webikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi mu kkooti ng’amulanga kwenyigira mu byobufuzi ebirimu kyekubiira.

Kaweesi olunaku lw’eggulo yasiibye mu gombolola ye Kyampisi e Mukono ng’atalaaga ne minisita omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule.

Kiwanuka agamba nti kino kimenya mateeka era ng’agenda mu kkooti ku ntandikwa ya wiiki ejja.

Kaweesi eno gyeyasinzidde n’ayambalira eyali Ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi nga bweyamusinza eryanyi bweyali akwatibwa obutagenda Mbale.

Leave a comment

0.0/5