
Abesibyewo ababiri ku ky’okukwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa pulezidenti Omwaka ogujja bali mu kunonya akalulu okusembayo nga balindirira ttabamiruka w’eklibiina omwaka ogujja.

Olwaleero senkaggale w’ekibiina Maj Gen Mugisha Muntu wakusisisnkanamu abakungu b’ekibiina n’okukuba enkungaana e Fort portal ne Bundibugyo ayolekere Ntungamo olunaku olwenkya.
Mungeri yeemu ye eyali ssenkaggale w’ekibiina kino Dr Kiiza Besigye ali Kampala wano ku Hotel Africana.