Aba University ye Makerere bagobye abayizi 15 abajingirira empapula za dipulooma okuweebwa ebifo mu ssomo ly’obusawo wamu n’okutabula eddagala.
Abagobeddwa kuliko abasoma obusawo 13 mu mwaka ogusooka sso nga abasoma okutabula eddagala bali 2.
Nga 9 March omuwandiisi wa University Alfred Masikye Namoah, yawandiikira bano bonna okweyanjula mu kakiiko akakwasisa empisa bewozeeko nga tebanagobwa.
Wabula 11 bokka bebeyanjula wabula byebewozaako tebyamatiza kakiiko kwekusalawo okubagoba.
Amyuka ssenkulu wa yunivasite eno Prof Barnabus Nawangwe akakasizza okugobwa kw’abayizi bano nalabula nti tebakkiriza bayizi bajingirira mpapula mu yunivasite.