
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao azizzaayo empapula z’okwesimbawo ku bwapulezidenti ku tikiti y’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa the Democratic alliance .
Mao abadde awerekeddwaako ssabawandiisi w’ekibiina Mathias Nsubuga n’omubaka Isa Kikungwe.
Azze akwataganye n’enkumbi ng’akabonero akalaga nti wa DP era nga ng’ono gy’ayagala okukiikirira mu lwokaano lw’okukwata Bendera y’abavuganya gavumenti.
Mungeri yeemu ne Dr. Kiiza Besigye ye asuubirwa okugyayo empapula z’okwesimabwo mu kifo kyekimu ku lwokusatu.