Skip to content Skip to footer

Mbabazi atuuse e Mbale- Poliisi yeswanta

File Photo: Mbabazi nga e Mbale
File Photo: Mbabazi nga e Mbale

Kyaddaaki eyali ssabaminisita w’eggwanga nga kati ayagala bwa pulezidenti   John Patrick Amama Mbabazi atuuse mu kibuga  Mbale wakati w’okwanirizibwa namunji w’omuntu n’obukwakkulizo eri poliisi .

Poliisi  eggadde enguudo bbiri ezoolekera  Hotel Pretoria Mbabazi gy’asuubirwa okusisinkana mu bakakuyege be.

Enguudo zino kuliko olwa Republic Street n’olwa  Naboa  zonna nga ziri mu tawuni ye Mbale.

Mbabazi  wakwebuza ku bakwanaganya kampeyini ze n’oluvanyuma akube olukungaana ku kisaawe kya Cricket mu tawuni ye Mbale.

Bbo abantu ab’enjawulo bakyeyiwa ku kisaawe okumulinda.

Yo  embeera mu tawuni ye Mbale ekyali ya bukkakamu nga era abaserikale ba poliisi tebayiriddwa nga omulundi ogwayita poliisi bweyalemesa Mbabazi okugenda mu kitundu kyekimu.

Ebyo nga bikyali bityo abawagizi ba Mbabazi bakukulumye olw’ebipande by’omuntu wabwe byabakatimba ate okutimbulwayo.

kigambibwa ebipande byatimbiddwa akawungezi akayise wabula abantu abatanategerekeka nebabitimbulayo mu matumbi budde.

Akulira ebyamawulire bya  Mbabazi  Maggie Lukowe ategeezezza nga ebipande byabwe byonna bwebyatimbuddwa abakuuma ddembe.

Leave a comment

0.0/5