Skip to content Skip to footer

Mao ayogedde ku by’okwesimbawo singa banne tebeegata

Bya Prossy Kisakye, Ssenkagale w’ekibiina kya DP Norbert Mao mu butongole alangiridde nti waakuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda kwa bonna okwa 2021 ssinga banne bwe bavuganya, banalemererwa okukaanya okusimbawo omuntu omu.

Bino abitegezezza bannamwulire ku kitebbe ky’ekeibiina mu Kampala, ng’agambye nti aba DP Bloc babadde bagezezaako okuteseganya ne bannabwe bwe bavuganya gavumenti, wabula nga abasinga balabise obutakiwagira.

Agambye nti banna-Uganda awamu betaaga bbo ng’abakulembeze bali waggulu begatte, balayoke babayiire obululu, wabula nga bakyeyawuddemu.

Kati agambye nti yye tajja kudda mu ddoyiddoyi ssinga okwegatta kinagaana, naye waakuvaayo avugenye ku ntebbe yomukulembeze w’ eggwanga

Leave a comment

0.0/5