Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Amama Mbabazi alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo ku bwapulezidenti avuganye n’eyali mukamawe pulezidenti Museveni omwaka ogujja.
Mu bubaka ku mukutu gwA youtube, Mbabazi asabye bannayuganda bonna okuli n’abekibiina kya NRM okumuwagira asiggukulule Museveni.
Mbabazi anokoddeyo ebintun 8 by’agenda okuteeka enyo essira okuli okutumbla enkulakulana eyomuggundu, okutonderawo bannayuganda emirimu okulwanyisa obuli bw’enguzi n’ebirala.
Agamba wakuvaayo n’enteekateeka endala ku biseera bya Uganda ebyomumaaso nga era okusoomozebwa kwonna okuli mu ggwanga kulina ekyokuddibibwamu.
Poliisi etegezezza nga bw’efunye amawulire nti waliwo ekibinja ekiwagira Mbabazi akirina ekigendererwa ky’okwekalakaasa wano mu Kampala, n’ebibuga ebinene wano mu ggwanga.
Okusinziira ku mukutu gwa poliisi ogwa face book omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nti bano tebanasaba lukusa kuva eri poliisi nga bwekilambikiddwa mu mateeka agalungamya ku by’enkungaana.
Enanga alabudde buli anetaba mu kwekalakaasa kuno nti wakukwatibwa avunanibwe nga amateeka bwegalagira.
Wabula agamba bbo nga poliisi tebaliiwo kulinyirira dembe lyamunnayuganda ayagala okweyogerera kasita agoberera amateeka.