
Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi asabye gavumenti okwewala okukolera ku bunkenke kubanga yakwongera okukola ensobi.
Ng’ayogerako eri bannamawulire , Mbabazi avumiridde ekikolwa ky’okukwata abawagizi be olweggulo lwa leero.
Asabye abakola ku by’okwerinda okwewala okukolera ku biragiro ebimenya amateeka kubanga bino biggya kuzaala emivuyo.
Waliwo abakuuma ddembe abazinze wofiisi za Go- Forward e Nakasero nebayoola abakozi, abawagizi n’abakulu mu kisinde kino.
Mbabazi agambye nti bakolagana ne bannamateeka okulaba ekiyinza okukolebwa mu kadde kano
Ono era awakanyizza ebigambibwa nti yandiva mu lwokaano
Okuzinda wofiisi za Mbabazi kuzze mu kaseera nga pulezidenti Museveni yakawera okukwata abo bonna abaakuba abawagizi be e Ntungamo.